Job 3

Yobu Akolimira Olunaku kwe Yazaalirwa

1Oluvannyuma lw’ebyo, Yobu n’ayasamya akamwa ke n’akolimira olunaku kwe yazaalirwa. 2N’agamba nti,

3 a“Olunaku kwe nazaalirwa luzikirire,
n’ekiro lwe kyalangirirwa nti omwana mulenzi.
4Olunaku olwo lubuutikirwe ekizikiza,
omusana guleme okulwakako,
Katonda aleme okulufaako.
5 bEkizikiza n’ekisiikirize eky’okufa birujjule,
ekire kirutuuleko,
ekizikiza kikankanye ekitangaala kyalwo.
6 cEkizikiza ekikutte be zigizigi kirunyage,
luleme okubalirwa awamu n’ennaku eziri mu mwaka,
wadde okuyingizibwa mu ezo eziri mu mwezi.
7Yee, lubeere lugumba,
waleme okuba eddoboozi lyonna ery’essanyu eririwulirwako.
8 dAbo abakolimira ennyanja n’ennaku balukolimire,
n’abo abamanyi okuzuukusa agasolo galukwata mu nnyanja, balukolimire.
9 eEmmunyeenye ez’omu matulutulu gaalwo zibe ekizikiza,
lulindirire ekitangaala kirubulwe,
luleme okulaba ebikowe by’oku nkya.
10Kubanga terwaggala nzigi za lubuto lwa mmange,
nneme okulaba obuyinike.

11 f“Lwaki saafa nga nzalibwa,
oba ne nfa nga nva mu lubuto lwa mmange?
12 gLwaki amaviivi ganzikiriza okugatuulako
era n’amabeere okugayonka?
13 hKaakano nandibadde ngalamidde nga neesirikidde,
nandibadde neebase nga neewummulidde,
14 iwamu ne bakabaka n’abakungu ab’ensi,
abezimbira embiri kaakano amatongo,
15 joba n’abalangira abaalina zaabu,
abajjuzanga ffeeza mu nnyumba zaabwe.
16 kOba lwaki saaziikibwa ng’omwana azaaliddwa ng’afudde,
atalabye ku kitangaala?
17 lEyo ababi gye batatawaanyizibwa,
era n’abakooye gye bawummulira.
18 mAbasibe gye bawummulira awamu,
gye batawulirira kiragiro ky’oyo abaduumira.
19Abakopi n’abakungu gye babeera;
abaddu gye batatuntuzibwa bakama baabwe.

20 n“Lwaki omuyinike aweebwa ekitangaala,
ne kimulisiza oyo alumwa mu mwoyo,
21 oera lwaki yeegomba okufa naye ne kutajja,
n’akunoonya okusinga obugagga obuziikiddwa,
22abajaguza ekisukkiridde,
ne basanyuka ng’atuuse ku ntaana?
23 pLwaki okuwa ekitangaala oyo,
atayinza kulaba kkubo,
Katonda gw’akomedde?
24 qKubanga nkaaba mu kifo ky’okulya,
n’okusinda kwange kufukumuka ng’amazzi.
25 rEkintu kye nantiiranga ddala
era kye nakyawa kye kyantukako.
26 sSiwummudde wadde okusiriikirira wadde okuba n’emirembe,
wabula buzibu bwereere bwe bunzijidde.”
Copyright information for LugEEEE